Psalms 80

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

1 aWulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
2 bAmaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,
Ebika ebyo ebisatu, bazzukulu ba Lakeeri; baagoberera Essanduuko y’Endagaano nga bakumba okulaga mu nsi ensuubize.

ojje otulokole.

3 dTukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
otutunuulize amaaso ag’ekisa,
otulokole.

4Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
5 eWabaliisa emmere ejjudde amaziga;
n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
6 fOtufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
n’abalabe baffe ne batuduulira.

7Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulokolebwe.

8 gWaleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 hAmatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 iKale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 jEmbizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 kTukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.

16 lBagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
Copyright information for LugEEEE